Psalms 109

Ya Makulu wa Bayimbi. Zabbuli ya Dawudi.

1 aAyi Katonda wange gwe ntendereza,
tonsiriikirira.
2 bKubanga abantu abakola ebibi era abalimba,
banjogeddeko eby’obulimba.
3 cBanfukumulidde ebigambo eby’obukyayi,
ne bannumbagana awatali nsonga.
4 dBwe mbalaga omukwano, bo bandaga bukyayi;
kyokka nze mbasabira.
5 eBwe mbakolera ebirungi bo bansasulamu bibi;
bwe mbalaga okwagala bo bankyawa bukyayi.

6 fMumulabire omuntu omukozi w’ebibi amwolekere;
wabeewo amuwawaabira.
7 gBwe banaawoza, omusango gumusinge;
n’okusaba kwe kufuuke kwonoona.
8 hAleme kuwangaala;
omuntu omulala amusikire.
9 iAbaana be basigalire awo nga tebaliiko kitaabwe,
ne mukyala we afuuke nnamwandu.
10Abaana be bataataaganenga nga bagenda basabiriza;
bagobebwe ne mu bifulukwa mwe basula.
11 jAmubanja ajje awambe ebibye byonna;
n’abagwira bamunyageko ebintu bye byonna bye yakolerera.
12 kWaleme kubaawo amusaasira,
wadde akolera abaana be ebyekisa.
13 lEzzadde lye lizikirizibwe,
n’amannya g’abazzukulu be gasangulwe mu ago ag’omu mulembe oguliddirira.
14 m Mukama ajjukirenga ebyonoono bya bakadde be;
n’ekibi kya nnyina kireme kwerabirwanga.
15 n Mukama ajjukirenga ebyonoono byabwe bulijjo,
n’ensi ebeerabirire ddala.

16 oKubanga talowoozangako kukolera muntu yenna kya kisa;
naye yayigganyanga abaavu, n’abeetaaga,
n’abanakuwavu n’abatuusa ne ku kufa.
17 pYayagalanga nnyo okukolima; kale ebikolimo bimwefuulire. Teyayagalanga mikisa; kale gimwesambire ddala!
18 qYeeteekako okukolima ng’ekyambalo,
ne kumutobya ng’amazzi,
ne kuyingira mu magumba ge ng’amafuta.
19Kubeerenga ng’ekyambalo ky’ayambadde,
era ng’olukoba lwe yeesibye emirembe gyonna.
20 rEbyo byonna y’eba ebeera empeera, Mukama gy’awa abo abandoopaloopa,
era abanjogerako eby’akabi ebyereere.

21 sNaye ggwe, Ayi Mukama Katonda wange,
nnwanirira olw’erinnya lyo;
era omponye olw’okwagala kwo okulungi okutaggwaawo.
22Kubanga ndi mwavu era ali mu kwetaaga,
n’omutima gwange gunyolwa nnyo.
23 tSikyaliwo, ndi ng’ekisiikirize eky’akawungeezi;
mmansuddwa eri ng’enzige.
24 uAmaviivi gange ganafuye olw’okusiiba;
omubiri gwange gukozze ne guggwaamu ensa.
25 vAbandoopaloopa bansekerera;
bwe bandaba nga banyeenyeza omutwe.

26 wMbeera, Ayi Mukama Katonda wange!
Ondokole ng’okwagala kwo okutaggwaawo bwe kuli.
27 xBaleke bategeere nti ggwe okikoze,
n’omukono gwo Ayi Mukama.
28 yBalikoma, naye ggwe olimpa omukisa!
Leka abannumbagana baswale,
naye nze omuddu wo nga nsanyuka!
29 zAbandoopa baswazibwe,
n’ensonyi zaabwe zibabuzeeko obwekyusizo.

30 aaNneebazanga Mukama n’akamwa kange;
nnaamutenderezanga wakati mu kibiina ekinene.
31 abKubanga alwanirira omunaku ali mu kwetaaga,
n’amuwonya abo abaagala afe.
Copyright information for LugEEEE